Exodus 34:6-7

6 aMukama n’ayita mu maaso ga Musa n’agamba nti, “Nze Mukama, Mukama Katonda alina ekisa n’okusaasira okungi, atasunguwala mangu, ajjudde obwesigwa n’okwagala okutaggwaawo. 7 bAkuuma okwagala eri enkumi n’enkumi asonyiwa ebisobyo byabwe, n’obujeemu bwabwe, n’ebibi byabwe. Talema kubonereza oyo asingiddwa omusango. Abonereza abaana n’abazzukulu olw’ebisobyo bya bakadde baabwe n’ebya bajjajjaabwe, okutuukira ddala ku mulembe ogwokusatu n’ogwokuna.”

Copyright information for LugEEEE